Amos 9:9-10

9 a“Kubanga ndiwa ekiragiro,
ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa
mu mawanga gonna,
ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta
era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
10 bAboonoonyi bonna mu bantu bange,
balifa kitala,
abo bonna aboogera nti,
‘Akabi tekalitutuukako.’ ”
Copyright information for LugEEEE